Deuteronomy 1:26-33

Okwemulugunya kwa Isirayiri

26 a“Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. 27 bNe mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. 28 cWa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki
Anaki baali batuuze b’omu Kanani, era baayitibwanga gasajja.
nabo twabalabayo.’ ”
29Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. 30 eMukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. 31 fEra ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”

32 gNewaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, 33 hsonga ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.

Copyright information for LugEEEE